Isaiah 11

Ettabi Eririva ku Yese

1 aEnsibuka erimera ng’eva ku kikonge kya Yese,
ne ku mirandira kulivaako omuti, ne ku muti kulivaako Ettabi eriribala ekibala.
2 bMwoyo wa Mukama alibeera ku ye,
Mwoyo ow’amagezi n’okutegeera
ne Mwoyo w’okusala ensonga, n’ow’amaanyi
ne Mwoyo w’okumanya era n’okutya Mukama Katonda.
3 cEra n’essanyu lye liribeera mu kutya Mukama Katonda.

Taasalenga misango ng’asinziira ku maaso ge gokka nga bwe galaba,
oba okusalawo ng’asinziira ku byawulira n’amatu ge byokka,
4 dnaye anaasaliranga abaavu emisango mu bwenkanya,
era asalire mu bwenkanya abo abawombeefu ab’omu nsi;
era alikuba ensi n’omuggo ogw’omu kamwa ke,
era alitta omukozi w’ebibi n’omukka ogw’omu kamwa ke.
5 eObutuukirivu, bwe buliba olukoba lwe yeesibya,
n’obwesigwa, bw’alyesiba mu kiwato kye.

6 fOmusege gulisulanga wamu n’omwana gw’endiga,
n’engo egalamire wamu n’omwana gw’embuzi;
era ennyana n’empologoma n’ennyana eya ssava binaagalamiranga wamu;
era omwana omuto yalizirabirira.
7Ente n’eddubu biririira wamu,
abaana baazo banaagalamiranga wamu.
Empologoma erirya omuddo ng’ente.
8N’omwana ayonka alizannyira ku kinnya ky’enswera,
n’omwana omuto aliteeka omukono gwe mu kinnya ky’essalambwa.
9 gTewalibeera kukolaganako bulabe
wadde okuttiŋŋana ku lusozi lwange olutukuvu.
Kubanga ensi eribeera ejjudde okumanya Mukama Katonda,
ng’amazzi bwe gajjuza ennyanja.
10 hAwo ku lunaku luli, muzzukulu wa Yese aliyimirira ng’ebendera eri amawanga. Oyo amawanga gwe ganaanoonyanga, n’ekifo kye eky’okuwummuliramu, kiribeera kya kitiibwa. 11 iEra ku lunaku olwo Mukama aligolola omukono gwe omulundi ogwokubiri
Abayisirayiri bwe baali bava e Misiri ogwo gwe mulundi ogwasooka.
okununula abasigalawo ku bantu be, okubaggya mu Bwasuli ne mu Misiri ne mu Pasuloosi ne mu Kuusi ne mu Eramu ne mu Sinaali ne mu Kamasi ne mu bizinga eby’omu nnyanja.

12 kEra aliwanikira amawanga bbendera, akuŋŋaanye abawaŋŋanguse ba Isirayiri;
aleete wamu abantu ba Yuda abaali basaasaanye mu nsonda ennya ez’ensi.
13 lOlwo obuggya bwa Efulayimu bulyoke buggweewo,
n’abo abateganya Yuda balizikirizibwa.
Efulayimu talikwatirwa Yuda buggya
wadde Yuda okubeera omulabe wa Efulayimu.
14 mBombi awamu balirumba ne bamalawo Abafirisuuti mu busozi bw’ebugwanjuba;
era bombiriri balinyaga abantu b’omu buvanjuba.
Baligolola omukono gwabwe ku Edomu ne Mowaabu;
n’abaana ba Amoni balibagondera.
15 nEra Mukama Katonda alikaliza
omukutu gw’ennyanja y’Abamisiri;
era aliwujira omukono gwe ku mugga Fulaati
ne guleetawo omuyaga ogukaza,
agwawulemu ebitundu musanvu
abantu bye banaasomokanga ku bigere.
16 oEra abo abalisigalawo ku bantu be balibeera n’ekkubo ery’okuyitamu ery’eggwanga
eryasigala ku Bwasuli
nga bwe kyali eri Isirayiri ku lunaku
lwe baaviirako mu Misiri.
Copyright information for LugEEEE